1 Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda. 2Oyo yaliwo ku lubereberye awali Katonda. 3Ebintu byonna byakolebwa ku bw'oyo; era awataali ye tewaakolebwa kintu na kimu ekyakolebwa. 4Obulamu bwali mu ye; obulamu ne buba omusana gw'abantu. 5Omusana ne gwaka mu kizikiza, so ekizikiza tekyagutegeera. 6Waalabika omuntu, Katonda, gwe yatuma, erinnya lye Yokaana. 7Oyo yajja olw'okutegeeza ategeeze eby'omusana, bonna bakkirize ku bubwe. 8Oyo si ye musana, wabula okutegeeza eby'omusana. 9Waliwo omusana ogw'amazima ogwakira buli muntu, nga gujja mu nsi. 10Yali mu nsi, ensi yakolebwa ku bubwe, era ensi teyamutegeera. 11Yajja mu matwale ge, naye abaali mu matwale ge tebaamusembeza. 12Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye: 13abataazaalibwa musaayi, newakubadde okwagala kw'omubiri, newakubadde okwagala kw'omuntu, naye abaazaalibwa Katonda. 14Kigambo n'afuuka omubiri, n'abeerako gye tuli (ne tulaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng'ekyoyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe), ng'ajjudde ekisa n'amazima. 15Yokaana n'amutegeeza n'ayogerera waggulu ng'ayogera nti Oyo gwe nnagamba nti Ajja ennyuma wange ansinga nze: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze. 16Kubanga ku kujjula kwe ffe fenna kwe twaweebwa, n'ekisa mu kifo ky'ekisa. 17Kubanga amateeka gaaweebwa ku bwa Musa; ekisa n'amazima byabaawo ku bwa Yesu Kristo. 18Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna; Omwana eyazaalibwa omu yekka, aba mu kifuba kya Kitaffe oyo yamutegeeza.
13Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka, Yesu n'ayambuka e Yerusaalemi. 14N'asanga mu yeekaalu abatunda ente n'endiga n'amayiba, n'abawaanyisa effeeza nga batudde: 15n'afuula emigwa olukoba, n'abagoba bonna mu yeekaalu, n'endiga n'ente; n'ayiwa effeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'avuunika embaawo zaabwe; 16n'agamba abaali batunda amayiba nti Muggyeewo ebintu bino: muleme kufuula nnyumba ya Kitange nnyumba ya buguzi. 17Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti Obuggya bw'ennyumba yo bulindya. 18Awo Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti Kabonero ki k'otwolesa akakukoza bino? 19Yesu n'addamu n'abagamba nti Mumenye yeekaalu eno, nange ndigizimbira ennaku ssatu. 20Awo Abayudaaya ne boogera nti Yeekaalu eno yazimbirwa emyaka amakumi ana mu mukaaga, naawe oligizimbira ennaku ssatu? 21Naye yayogera ku yeekaalu ya mubiri gwe. 22Awo bwe yazuukizibwa mu bafu, abayigirizwa be ne bajjukira nti yayogera ekyo; ne bakkiriza ebyawandiikibwa, n'ekigambo Yesu kye yayogera. 23Awo bwe yali mu Yerusaalemi ku Kuyitako, ku mbaga, bangi ne bakkiriza erinnya lye, bwe baalaba obubonero bwe bwe yakola. 24Naye Yesu n'atabeeyabizaamu kubanga yategeera bonna, 25era teyeetaaga muntu yenna okutegeeza eby'abantu; kubanga ye yennyini yategeera ebyali mu bantu.
1 Awo waaliwo omuntu ow'omu Bafalisaayo, erinnya lye Nikoodemo, mwami mu Bayudaaya: 2oyo n'ajja gy'ali ekiro, n'amugamba nti Labbi, tumanyi nti Oli muyigiriza eyava eri Katonda: kubanga tewali muntu ayinza okukola obubonero buno bw'okola ggwe, wabula Katonda ng'ali naye. 3Yesu n'addamu n'amugamba nti Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda. 4Nikoodemo n'amugamba nti Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw'aba nga mukadde? ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogw'okubiri, n'azaalibwa? 5Yesu n'addamu nti Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 6Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri; n'ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo. 7Teweewuunya kubanga nkugambye nti Kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri. 8Empewo ekuntira gy'eyagala, n'owulira okuwuuma kw'ayo, naye tomanyi gy'eva, newakubadde gy'egenda: bw'atyo bw'abeera buli muntu yenna azaalibwa Omwoyo. 9Nikoodemo n'addamu n'amugamba nti Ebyo biyinza bitya okubaawo? 10Yesu n'addamu n'amugamba nti Ggwe omuyigiriza wa Isiraeri, n'ototegeera ebyo? 11Ddala ddala nkugamba nti Twogera kye tumanyi, tutegeeza kye twalaba; so temukkiriza kutegeeza kwaffe. 12Bwe mbabuulidde eby'ensi, ne mutakkiriza, mulikkiriza mutya bwe nnaababuulira eby'omu ggulu? 13Tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, wabula eyava mu ggulu, ye Mwana w'omuntu ali mu ggulu. 14Nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n'Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa: 15buli muntu yenna amukkiriza abeere n'obulamu obutaggwaawo mu ye. 16 Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo. 17Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye. 18Amukkiriza tegumusinga: atamukkiriza gumaze okumusinga, kubanga takkirizza linnya lya Mwana eyazaalibwa omu yekka owa Katonda. 19Guno gwe musango kubanga omusana guzze mu nsi, abantu ne baagala enzikiza okukira omusana; kubanga ebikolwa byabwe byali bibi. 20Kubanga buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa omusana, so tajja eri omusana, ebikolwa bye bireme okunenyezebwa. 21Naye akola amazima ajja eri omusana ebikolwa bye birabike nga byakolerwa mu Katonda.
1 Awo Mukama waffe bwe yategeera nga Abafalisaayo bawulidde nti Yesu ayigiriza era nti abatiza bangi okukira Yokaana, 2(naye Yesu yennyini teyabatiza, wabula abayigirizwa be), 3n'ava mu Buyudaaya, n'agenda e Ggaliraaya nate. 4Era kyamugwanira okuyita mu Samaliya. 5Awo n'atuuka mu kibuga eky'e Samaliya kye bayita Sukali, ekiriraanye olusuku Yakobo lwe yawa omwana we Yusufu: 6era, mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Awo Yesu yali akooye olugendo, n'amala gatuulirawo ku luzzi, obudde nga ssaawa mukaaga. 7Omukazi Omusamaliya n'ajja okusena amazzi: Yesu n'amugamba nti Mpa nnywe. 8Kubanga abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugula emmere. 9Awo omukazi Omusamaliya n'amugamba nti Ggwe Omuyudaaya, kiki ekikusabya okunywa eri nze omukazi Omusamaliya? (Kubanga Abayudaaya nga tebatabagana na Basamaliya.) 10Yesu n'addamu n'amugamba nti Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda n'oyo akugamba nti Mpa nnywe bw'ali, ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu. 11Omukazi n'amugamba nti Ssebo, tolina kya kusenya, n'oluzzi luwanvu: kale oggya wa amazzi ago amalamu? 12Ggwe oli mukulu okukira jjajjaffe Yakobo, eyatuwa oluzzi luno, eyanywangamu ye n'abaana be n'ensolo ze? 13Yesu n'addamu n'amugamba nti Buli muntu yenna anywa amazzi gano ennyonta erimuluma nate: 14naye anywa amazzi ago nze ge ndimuwa ennyonta terimulumira ddala emirembe gyonna; naye amazzi ge ndimuwa ganaafuukanga munda mu ye ensulo y'amazzi nga gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo. 15Omukazi n'amugamba nti Ssebo, mpa amazzi ago, ennyonta ereme okunnumanga, n'okukoma nkome okutambula olugendo luno lwonna okusenanga. 16Yesu n'amugamba nti Genda oyite balo, okomewo wano. 17Omukazi n'addamu n'amugamba nti Sirina baze. Yesu n'amugamba nti Oyogedde bulungi nti Sirina baze; 18kubanga walina babalo bataano, naye gw'olina kaakano si balo: ekyo ky'oyogedde mazima. 19Omukazi n'amugamba nti Ssebo, ndaba nti oli nnabbi. 20Bajjajjaffe baasinzizanga ku lusozi luno; nammwe mugamba nti Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu. 21Yesu n'amugamba nti Omukyala, nzikiriza, ekiseera kijja kye batalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno newakubadde mu Yerusaalemi. 22Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi; kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya. 23Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n'amazima: kubanga Kitaffe anoonya abali ng'abo okubeera ab'okumusinzanga. 24Katonda gwe Mwoyo: n'abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n'amazima. 25Omukazi n'amugamba nti Mmanyi nga Kristo ajja (gwe bayita Eyafukibwako amafuta): ye bw'alijja alitubuulira ebigambo byonna. 26Yesu n'amugamba nti Nze nzuuno ayogera naawe. 27Amangu ago abayigirizwa be ne bajja; ne beewuunya kubanga abadde ayogera n'omukazi: naye tewali muntu eyagamba nti Onoonya ki? oba nti Kiki ekikwogeza naye? 28Awo omukazi n'aleka ensuwa ye, n'agenda mu kibuga, n'abuulira abantu nti 29Mujje mulabe omuntu aŋŋambye bye nnakolanga byonna: ayinza okuba nga ye Kristo? 30Ne bava mu kibuga, ne bajja gy'ali. 31Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali nga bamwegayirira nga bagamba nti Labbi, lya. 32Naye n'abagamba nti Nnina ekyokulya kye ndya kye mutamanyi. 33Awo abayigirizwa ne boogera bokka na bokka nti Waliwo omuntu amuleetedde ekyokulya? 34Yesu n'abagamba nti Ekyokulya kyange kwe kukolanga eyantuma by'ayagala n'okutuukiriza omulimu gwe. 35Mmwe temwogera nti Esigaddeyo emyezi ena okukungula kulyoke kutuuke? Laba, mbagamba nti Muyimuse amaaso mulabe ennimiro nga zimaze okutukula okukungulibwa. 36Akungula aweebwa empeera, n'akuŋŋaanya ebibala olw'obulamu obutaggwaawo; asiga n'akungula basanyukire wamu. 37Kubanga ekigambo kino bwe kiri bwe kityo eky'amazima nti Asiga mulala, n'akungula mulala. 38Nze nnabatuma okukungula kye mutaatengejjera: abalala baakola emirimu, nammwe muyingidde emirimu gyabwe. 39Ab'omu kibuga omwo Abasamaliya bangi ku bo abaamukkiriza olw'ekigambo ky'omukazi, eyategeeza nti Aŋŋambye bye nnakolanga byonna. 40Awo Abasamaliya bwe baatuuka w'ali ne bamwegayirira abeere nabo: n'asulayo ennaku bbiri. 41Bangi nnyo ne beeyongera okukkiriza olw'ekigambo kye, 42ne bagamba omukazi nti Kaakano tukkiriza, si lwa kwogera kwo kwokka: kubanga twewuliridde fekka, n'okutegeera tutegedde nga mazima ono ye Mulokozi w'ensi.
19 Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Omwana tayinza yekka kukola kintu, bw'atalabira ku Kitaawe ng'akola: kubanga ye by'akola byonna, n'Omwana by'akola bw'atyo. 20Kubanga Kitange ayagala Omwana, amulaga byonna by'akola yennyini; era alimulaga emirimu eminene egisinga egyo mmwe mwewuunye. 21Kubanga Kitange bw'azuukiza abafu n'abawa obulamu, bw'atyo n'Omwana abawa obulamu bonna b'ayagala okuwa. 22Kubanga Kitange n'okusala tasalira muntu musango, naye yawa Omwana okusala omusango gwonna; 23bonna bassengamu Omwana ekitiibwa, nga bwe bassaamu Kitange ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, nga tassaamu kitiibwa Kitaawe eyamutuma. 24Ddala ddala mbagamba nti Awulira ekigambo kyange, n'akkiriza oyo eyantuma, alina obulamu obutaggwaawo, so talijja mu musango, naye ng'avudde mu kufa okutuuka mu bulamu. 25Ddala ddala mbagamba nti Ekiseera kijja era weekiri kaakano abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katonda, n'abo abaliwulira baliba balamu. 26Kuba nga Kitange bw'alina obulamu mu ye, bw'atyo bwe yawa Omwana okuba n'obulamu mu ye; 27era yamuwa obuyinza okusala omusango, kubanga ye Mwana w'omuntu. 28Temwewuunya ekyo: kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, 29ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n'abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango. 30 Nze siyinza kukola kintu ku bwange: nga bwe mpulira, bwe nsala: n'omusango gwe nsala gwa nsonga; kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by'ayagala.
25Bwe baamulabira emitala w'ennyanja ne bamugamba nti Labbi, ozze ddi wano? 26Yesu n'abaddamu n'agamba nti Ddala ddala mbagamba nti Munnoonya si kubanga mwalaba obubonero naye kubanga mwalya ku migaati ne mukkuta. 27Temukolerera kyakulya ekiggwaawo, naye ekyokulya ekirwawo okutuuka ku bulamu obutaggwaawo, Omwana w'omuntu ky'alibawa: kubanga Kitaffe ye Katonda amussizzaako oyo akabonero. 28Awo ne bamugamba nti Tugire tutya okukola emirimu gya Katonda? 29Yesu n'addamu n'abagamba nti Guno gwe mulimu gwa Katonda, okukkiriza oyo gwe yatuma. 30Awo ne bamugamba nti Kale kabonero ki ggwe k'okola, tulabe, tukukkirize? okola mulimu ki? 31Bajjajjaffe baaliiranga emmaanu mu ddungu; nga bwe kyawandiikibwa nti Yabawa emmere okulya eyava mu ggulu. 32Awo Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eyava mu ggulu; naye Kitange ye yabawa emmere ey'amazima eva mu ggulu. 33Kubanga emmere ya Katonda ye eyo eva mu ggulu ereetera ensi obulamu. 34Awo ne bamugamba nti Mukama waffe, tuwenga bulijjo emmere eyo. 35Yesu n'abagamba nti Nze mmere ey'obulamu: ajja gye ndi enjala terimuluma, anzikiriza ennyonta terimuluma n'akatono. 36Naye n'abagamba nti mundabye, era temukkirizza. 37Buli Kitange gw'ampa, alijja gye ndi: ajja gye ndi sirimugobera bweru n'akatono. 38Kubanga saava mu ggulu kukola kye njagala nze, wabula oli eyantuma ky'ayagala. 39Eyantuma ky'ayagala kino mu bonna be yampa aleme okumbula n'omu naye mmuzuukirize ku lunaku olw'enkomerero. 40Kubanga Kitange ky'ayagala kye kino buli muntu yenna alaba Omwana n'amukkiriza abe n'obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero. 41Awo Abayudaaya ne bamwemulugunyira kubanga yagamba nti Nze mmere eyava mu ggulu. 42Ne bagamba nti Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu, gwe tumanyiiko kitaawe ne nnyina? kaakano agamba atya nti Nnava mu ggulu? 43Yesu n'addamu n'abagamba nti Temwemulugunya mwekka na mwekka. 44Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw'atamuwalula; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero. 45Kyawandiikibwa mu bannabbi nti Ne bonna baliyigirizibwa Katonda. Buli eyawulira Kitange n'ayiga, ajja gye ndi. 46Si kubanga waliwo omuntu eyali alabye ku Kitange, wabula eyava eri Katonda, oyo ye yalaba Kitange. 47Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza alina obulamu obutaggwaawo. 48Nze mmere ey'obulamu. 49Bajjajja bammwe baaliiranga emmaanu mu ddungu, ne bafa. 50Eno ye mmere eva mu ggulu, omuntu agiryeko, aleme okufa. 51Nze mmere ennamu eyava mu ggulu: omuntu bw'alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe: era emmere gye ndigaba gwe mubiri gwange, olw'obulamu bw'ensi. 52 Awo Abayudaaya ne bawakana bokka na bokka, nga bagamba nti Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya? 53Awo Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa muntu ne munywa omusaayi gwe, temulina bulamu mu mmwe. 54Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero. 55Kubanga omubiri gwange kye kyokulya ddala, n'omusaayi gwange kye ky'okunywa ddala. 56Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, abeera mu nze, nange mu ye. 57Nga Kitange omulamu bwe yantuma, nange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange; bw'atyo andya ye aliba omulamu ku bwange. 58Eno ye mmere eyava mu ggulu: si nga bajjajja bwe baalya ne bafa: alya emmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe. 59Ebyo yabyogerera mu kkuŋŋaaniro ng'ayigiriza mu Kaperunawumu.
12 Awo Yesu n'ayogera nabo nate, n'agamba nti Nze musana gw'ensi: angoberera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n'omusana ogw'obulamu. 13Awo Abafalisaayo ne bamugamba nti Ggwe weetegeeza wekka; okutegeeza kwo si kwa mazima. 14Yesu n'addamu n'abagamba nti Newakubadde nga nneetegeeza nzekka, okutegeeza kwange kwa mazima; kubanga mmanyi gye nnava, ne gye ŋŋenda; naye mmwe temumanyi gye nva, newakubadde gye ŋŋenda. 15Mmwe musala omusango ng'omubiri bwe guli; nze sisalira muntu musango. 16Naye newakubadde nga nze nsala omusango, okusala kwange kwa mazima; kubanga nze siri omu, naye nze ne Kitange eyantuma. 17Era naye ne mu mateeka gammwe kyawandiikibwa nti okutegeeza kw'abantu ababiri kwa mazima. 18Nze nneetegeeza nzekka, ne Kitange eyantuma ategeeza ebyange. 19Awo ne bamugamba nti Kitaawo ali ludda wa? Yesu n'addamu nti Nze temummanyi, newakubadde Kitange. Singa mummanyi nze, ne Kitange mwandimumanye. 20Ebigambo ebyo yabyogerera mu ggwanika, bwe yali ng'ayigiriza mu yeekaalu: so tewaali eyamukwata, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka.
1 Bwe yali ng'ayita, n'alaba omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. 2Abayigirizwa be ne bamubuuza, nga bagamba nti Labbi, ani eyayonoona, ono oba abazadde be, kye kyamuzaaza nga muzibe wa maaso? 3Yesu n'addamu nti Ono teyayonoona, newakubadde abazadde be, naye emirimu gya Katonda girabikire ku ye. 4Ffe kitugwanira okukola emirimu gy'oyo eyantuma, obudde nga misana. Ekiro kijja omuntu mw'atayinziza kukolera. 5Bwe mba mu nsi, ndi musana gwa nsi. 6Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'awanda amalusu ku ttaka, n'atabula ettaka n'amalusu, n'amusiiga ettaka ku maaso, 7n'amugamba nti Genda, onaabe mu kidiba kya Sirowamu (okutegeezebwa kwakyo nti Eyatumibwa). Awo n'agenda, n'anaaba, n'akomawo ng'alaba. 8Awo baliraanwa be n'abaamulabanga edda ng'atudde ng'asabiriza, ne bagamba nti Si ye wuuno eyatuulanga ng'asabiriza? 9Abalala ne bagamba nti Ye wuuyo: abalala ne bagamba nti Nedda, naye afaanana naye. Ye n'agamba nti Nze nzuuno. 10Awo ne bamugamba nti Kale amaaso go gaazibuka gatya? 11Ye n'addamu nti Omuntu ayitibwa Yesu yatabula ettaka, n'ansiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti Genda ku Sirowamu, onaabe: awo ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne nzibula. 12Ne bamugamba nti Ali ludda wa oyo? N'agamba nti Simanyi.
7 Awo Yesu n'abagamba nate nti Ddala ddala mbagamba nti Nze mulyango gw'endiga. 8Bonna abansooka baali babbi era abanyazi: naye endiga tezaabawulira. 9Nze mulyango: omuntu bw'ayingirira mu nze alirokoka, aliyingira, alifuluma, aliraba eddundiro. 10Omubbi tajja wabula okubba, n'okutta, n'okuzikiriza. Nze najja zibe n'obulamu, era zibe nabwo obungi. 11Nze musumba omulungi: omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga. 12Alundirira empeera, atali musumba, endiga nga si zize ye, bw'alaba omusege nga gujja, aleka endiga n'adduka, n'omusege guzisikula guzisaasaanya. 13Adduka kubanga wa mpeera, so endiga tazissaako mwoyo. 14Nze musumba omulungi: era ntegeera ezange, n'ezange zintegeera 15nga Kitange bw'antegeera, nange bwe ntegeera Kitange; nange mpaayo obulamu bwange olw'endiga. 16Era nnina n'endiga endala ezitali za mu kisibo kino: nazo kiŋŋwanira okuzireeta, ziriwulira eddoboozi lyange; era ziriba ekisibo kimu, omusumba omu. 17Kitange kyava anjagala, kubanga nze mpaayo obulamu bwange, ndyoke mbutwale ate. 18Tewali abunziyako, naye nze nzekka mbuwaayo. Nnina obuyinza obw'okubuwaayo, era nnina obuyinza obw'okubutwala nate. Ekiragiro ekyo nakiweebwa Kitange. 19 Ne wabaawo nate okwawukana mu Bayudaaya olw'ebigambo ebyo. 20Abamu ku bo bangi ne bagamba nti Aliko dayimooni era alaluse; mumuwulirira ki? 21Abalala ne bagamba nti Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni ayinza okuzibula amaaso ga bamuzibe?
20 Naye waaliwo Abayonaani abalala mu abo abajja ku mbaga okusinza: 21awo bali ne bajja eri Firipo, eyava e Besusayida eky'omu Ggaliraaya, ne bamubuuza, nga bamugamba nti Ssebo, twagala okulaba Yesu. 22Firipo n'ajja n'abuulira Andereya; Andereya n'ajja, ne Firipo, ne babuulira Yesu. 23Yesu n'abaddamu, n'agamba nti Obudde butuuse, Omwana w'omuntu agulumizibwe. 24Ddala ddala mbagamba nti Empeke y'eŋŋaano bw'etegwa mu ttaka n'efa, ebeerera awo yokka; naye bw'efa, ebala emmere nnyingi. 25Ayagala obulamu bwe bumubula; naye akyawa obulamu bwe mu nsi eno alibusigaza okutuuka ku bulamu obutaggwaawo. 26Omuntu bw'ampeereza, angobererenga; nange gye ndi, eyo omuweereza wange naye gy'anaabanga: omuntu bw'ampeereza, Kitange alimussaamu ekitiibwa.
31Awo bwe yamala okufuluma, Yesu n'agamba nti Kaakano Omwana w'omuntu agulumizibwa, ne Katonda agulumizibwa mu ye; 32era Katonda alimugulumiza mu ye yennyini, era amangu ago anaamugulumiza. 33Baana bange, ekiseera kitono nga nkyali nammwe. Mulinnoonya: era nga bwe nnagamba Abayudaaya nti Gye ŋŋenda nze mmwe temuyinza kujja, era nammwe bwe mbagamba kaakano. 34Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga. 35Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n'okwagalana mwekka na mwekka.
1 Omutima gwammwe tegweraliikiriranga: mukkirize Katonda, era nange munzikirize. 2Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby'okubeeramu. Singa tekiri bwe kityo, nandibagambye; kubanga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. 3Era oba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo. 4Era gye ŋŋenda, ekkubo mulimanyi. 5Tomasi n'amugamba nti Mukama waffe, tetumanyi gy'ogenda; ekkubo tulimanyi tutya? 6Yesu n'amugamba nti Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze. 7Singa muntegedde, ne Kitange mwandimumanye: okusooka kaakano mumutegeera era mumulabye. 8Firipo n'amugamba nti Mukama waffe, tulage Kitaffe, kale kinaatumala. 9Yesu n'amugamba nti Kasookedde mbeera nammwe, ebiro ebingi bwe bityo, era tontegeeranga, Firipo? Alabye ku nze, ng'alabye ku Kitange; kiki ekikwogeza ggwe nti tulage Kitaffe? 10Tokkiriza nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange ali mu nze? Ebigambo bye mbagamba nze, sibyogera ku bwange nzekka; naye Kitange bw'abeera mu nze akola emirimu gye. 11Munzikirize nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange mu nze: oba munzikirize olw'emirimu gyokka. 12Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza nze emirimu gye nkola nze, naye aligikola; era alikola egisinga egyo obunene; kubanga nze ŋŋenda eri Kitange. 13Na buli kye munaasabanga mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga, Kitange agulumirizibwenga mu Mwana. 14Bwe munansabanga ekigambo mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga.
15Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange. 16Nange ndisaba Kitange, naye alibawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe. 17Omwoyo ow'amazima: ensi gw'eteyinza kukkiriza; kubanga temulaba, so temutegeera: mmwe mumutegeera; kubanga abeera gye muli, era anaabanga mu mmwe. 18Siribaleka bamulekwa; nkomawo gye muli. 19Esigadde ekiseera kitono, ensi obutandaba nate; naye mmwe mundaba: kubanga nze ndi mulamu nammwe muliba balamu. 20Ku lunaku olwo mulitegeera mmwe nga nze ndi mu Kitange, nammwe mu nze, nange mu mmwe. 21Alina ebiragiro byange, n'abikwata, oyo nga ye anjagala: anjagala anaayagalibwanga Kitange, nange nnaamwagalanga, nnaamulabikiranga. 22Yuda (atali Isukalyoti) n'amugamba nti Mukama waffe, kibadde kitya ggwe okugenda okutulabikira ffe, so si eri ensi? 23Yesu n'amuddamu n'amugamba nti Omuntu bw'anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange: ne Kitange anaamwagalanga, era tunajjanga gy'ali, tunaatuulanga gy'ali. 24Atanjagala takwata bigambo byange: n'ekigambo kye muwulira si kyange, naye kya Kitange eyantuma. 25Ebigambo ebyo mbabuulidde nga nkyali nammwe. 26Naye Omubeezi, Omwoyo Omutukuvu, Kitange gw'alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba. 27Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa: si ng'ensi bw'ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweraliikiriranga so tegutyanga. 28Muwulidde bwe mbagambye nti ŋŋenda, era nkomawo gye muli. Singa munjagala, mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange: kubanga Kitange ansinga obukulu. 29Kaakano mbagambye nga tekinnaba kubaawo, lwe kiribaawo mulyoke mukkirize. 30Sikyayogera nnyo nate nammwe; kubanga afuga ensi ajja: naye tandiiko kigambo; 31naye ensi etegeere nga njagala Kitange, era Kitange bwe yandagira, bwe ntyo bwe nkola. Mugolokoke, tuve wano.
1 Nze muzabbibu ogw'amazima, ne Kitange ye mulimi. 2Buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala, aliggyawo: na buli eribala ebibala alirongoosa, lyeyongerenga okubala. 3Mmwe kaakano mumaze okuba abalongoofu olw'ekigambo kye mbagambye. 4Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera mu muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze. 5Nze muzabbibu, mmwe matabi: abeera mu nze, nange mu ye, oyo abala ebibala bingi: kubanga awatali nze temuliiko kye muyinza kukola. 6Omuntu bw'atabeera mu nze, asuulibwa ebweru ng'ettabi, akala; bagakuŋŋaanya, bagasuula mu muliro, ne gaggya. 7Bwe mubeera mu nze, n'ebigambo byange bwe bibeera mu mmwe, musabenga kye mwagala kyonna, munaakikolerwanga. 8Mukino Kitange agulumizibwa, mubalenga ebibala bingi; era munaabanga abayigirizwa bange. 9Nga Kitange bwe yanjagala, nange mbagadde mmwe: mubeerenga mu kwagala kwange. 10Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange; nga nze bwe nnakwata ebiragiro bya Kitange, ne mbeera mu kwagala kwe. 11Ebyo mbibagambye, essanyu lyange libeerenga mu mmwe, era essanyu lyammwe lituukirire. 12Kino kye kiragiro kyange, mwagalanenga, nga bwe nnabaagala mmwe. 13Tewali alina kwagala kunene okusinga kuno omuntu okuwaayo obulamu bwe olwa mikwano gye. 14Mmwe muli mikwano gyange, bwe mukola bye mbalagira. 15Sikyabayita baddu; kubanga omuddu tamanyi mukama we by'akola; naye mbayise ba mukwano; kubanga byonna bye nnawulira eri Kitange mbibabuulidde mmwe. 16Si mmwe mwannonda nze, naye nze nnabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, n'ebibala byammwe bibeerengawo: kyonna kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, akibawenga. 17Mbalagidde bino, mwagalanenga.
1 Yesu yayogera ebyo; n'ayimusa amaaso ge mu ggulu n'agamba nti Kitange, ekiseera kituuse; gulumiza Omwana wo, Omwana wo akugulumize: 2nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, era bonna be wamuwa, abawe obulamu obutaggwaawo. 3Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow'amazima, n'oyo gwe watuma, Yesu Kristo. 4Nze nkugulumizizza ku nsi kubanga omulimu gwe wampa okukola ngukomekkerezza. 5Ai Kitange, ne kaakano ngulumiza ggwe wamu naawe mu kitiibwa kiri kye nnali nakyo awamu naawe ng'ensi tennabaawo. 6Njolesezza erinnya lyo abantu be wampa okubaggya mu nsi: baali babo, n'obampa nze; nabo bakutte ekigambo kyo. 7Kaakano bategedde nga byonna bye wampa biva mu ggwe: 8kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde; ne babiganya, ne bategeera mazima nga nnava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wantuma. 9Nze mbasabira abo; sisabira nsi, wabula bo be wampa; kubanga babo; 10era ebyange byonna bibyo, n'ebibyo byange: nange ngulumizibwa mu bo. 11Siri mu nsi nate, naye bano bali mu nsi, nange njija gy'oli. Kitange Omutukuvu, obakuumenga mu linnya lyo be wampa, babeerenga bumu, nga ffe. 12Bwe nnali nabo be wampa nnabakuumanga mu linnya lyo: era ne mbazibira, tekubulanga muntu ku bo, wabula omwana w'okubula; ebyawandiikibwa bituukirire. 13Naye kaakano njija gy'oli; na bino mbyogera mu nsi babe n'essanyu lyange nga lituukiridde mu bo. 14Mbawadde ekigambo kyo; era ensi yabakyawa, kubanga si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi. 15Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga mu bubi. 16Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi. 17Obatukuze mu mazima: ekigambo kyo ge mazima, 18Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe nnabatuma mu nsi. 19Era nze nneetukuza ku bwabwe, nabo bennyini batukuzibwe mu mazima. 20So sibasabira bano bokka, naye n'abo abanzikiriza olw'ekigambo kyabwe; 21bonna babeerenga bumu; nga ggwe, Kitange, bw'oli mu nze, nange mu ggwe, era nabo babeerenga mu ffe: ensi ekkirize nga ggwe wantuma. 22Nange ekitiibwa kye wampa nkibawadde; babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu; 23nze mu bo, naawe mu nze, batuukiririre okuba obumu; ensi etegeerenga nga ggwe wantuma, n'obaagala bo, nga bwe wanjagala nze. 24Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeeranga nange; balabe ekitiibwa kyange kye wampa: kubanga wanjagala nze ng'ensi tennatondebwa. 25Kitange Omutuukirivu, ensi teyakutegeera, naye nze nnakutegeera; na bano baategeera nga ggwe wantuma; 26era nnabategeeza erinnya lyo era nditegeeza; okwagala kwe wanjagala kubeerenga mu bo, nange mu bo.
28 Oluvannyuma lw'ebyo, Yesu bwe yamanya nti kaakano ebigambo byonna bimaze okutuukirira, ekyawandiikibwa kituukirizibwe, n'agamba nti Nnina ennyonta. 29Waali wateekeddwawo ekibya ekkijjudde omwenge omukaatuufu: awo ne bassa ku ezobu ekisuumwa ekijjudde omwenge omukaatuufu, ne bakitwala ku mumwa gwe. 30Awo Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge, n'agamba nti Kiwedde: n'akutamya omutwe gwe, n'awaayo omwoyo gwe. 31 Awo Abayudaaya, kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka, emirambo gireme okubeera ku musalaba ku lunaku lwa sabbiiti (kubanga olunaku lwa ssabbiiti eyo lwali lukulu,) ne basaba Piraato okubamenya amagulu gaabwe, balyoke baggibweko. 32Awo basserikale ne bajja, ne basookera ku omu ne bamumenya amagulu, n'omulala eyakomererwa naye: 33naye bwe bajja eri Yesu, ne balaba ng'amaze okufa, ne batamumenya magulu: 34naye sserikale omu n'amufumita mu mbiriizi ze n'effumu, amangu ago ne muvaamu omusaayi n'amazzi. 35Naye eyalaba n'ategeeza n'okutegeeza kwe kwa mazima: era oyo amanyi ng'ayogera amazima, nammwe mulyoke mukkirize. 36Kubanga ebyo byabaawo, ekyawandiikibwa kituukirire nti Talimenyebwa ggumba. 37Era nate ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti Balimulaba gwe baafumita.
19 Awo ku lunaku luli akawungeezi ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, enzigi bwe zaali nga ziggaddwawo abayigirizwa mwe baali, olw'okutya Abayudaaya, Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti Emirembe gibe mu mmwe. 20Awo bwe yamala okwogera bw'atyo, n'abalaga engalo ze n'embiriizi ze. Abayigirizwa ne basanyuka, bwe baalaba Mukama waabwe. 21Awo Yesu n'abagamba nate nti Emirembe gibe mu mmwe: nga Kitange bwe yantuma nze, nange bwe ntyo mbasindika mmwe. 22Bwe yamala okwogera ekyo, n'abassiza omukka, n'abagamba nti Mutoole Omwoyo Omutukuvu: 23be munaggyangako ebibi bonna, baggibwako; be munaasibiranga ebibi bonna, basibirwa.